John 13:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu bwe yamala okwogera ebyo, n'atabanguka mu mwoyo, n'ayatulira ddala nti: “Mazima, mazima mbagamba nti omu ku mmwe ajja kumpaayo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’alumwa nnyo mu mwoyo, n’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba, omu ku mmwe anandyamu olukwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu bwe yamala okwogera bw'atyo, ne yeeraliikirira mu mwoyo, n'ayatula, n'agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'anyolwa mu mwoyo, n'ayatula, n'agamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu bwe yamala okwogera bw'atyo, ne yeeraliikirira mu mwoyo, n'ategeeza, n'ayogera nti Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe.