John 13:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye ne yeewunzikira kumpi ddala ne Yezu, n'amugamba nti: “Mukama, ani oyo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale bwe yaddayo okugalamira ng’aliraanye ekifuba kya Yesu, n’amubuuza nti, “Mukama waffe, gw’oyogerako ye ani?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ye bwe yagalamira mu kifuba kya Yesu, nga bwe yali, n'amugamba nti, “Mukama wange, ye ani?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye bwe yaddayo okugalamira ng'aliraanye ekifuba kya Yesu, n'amubuuza nti: “Mukama wange, gw'oyogerako ye ani?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ye bwe yagalamira mu kifuba kya Yesu, nga bwe yali, n'amugamba nti Mukama wange, ye ani?