John 13:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'addamu nti: “Ye oyo gwe nnaakoleza ekitundu ky'omugaati ne nkimuwa.” Bwe yakoza ekitundu ky'omugaati, n'akiwa Yuda mutabani wa Simoni Yisikariyoti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’addamu nti, “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa nga ye wuuyo.” Awo n’akwata ekitole, n’akikoza n’akiwa Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yesu n'addamu nti, “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa ye wuuyo.” Awo bwe yakoza ekitole, n'akitwala, n'akiwa Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'addamu nti: “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa, nga ye wuuyo.” Awo n'akwata ekitole, n'akikoza, n'akiwa Yuda, omwana wa Simooni Yisikaryoti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yesu n'addamu nti Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa ye wuuyo. Awo bwe yakoza ekitole, n'akitwala, n'akiwa Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti.