John 13:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma lw'okulya ekitundu ky'omugaati, Sitaani n'amuyingiramu. Yezu n'amugamba nti: “Ky'okola kikole mangu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yuda bwe yamala okuweebwa ekitole ekyo, Setaani n’amuyingiramu. Awo Yesu n’amugamba nti, “Ky’okola kikole mangu!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yamala okuweebwa ekitole, Setaani n'alyoka amuyingiramu. Awo Yesu n'amugamba nti, “Ky'okola, kola mangu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yuda bwe yamala okufuna ekitole ekyo, Sitaani n'amuyingiramu. Awo Yesu n'amugamba nti: “Ky'okola, kikole mangu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yamala okuweebwa ekitole, Setaani n'alyoka amuyingiramu. Awo Yesu n'amugamba nti Ky'okola, kola mangu.