John 13:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yabanga n'ensawo, Yezu yali amugamba nti: “Gula bye twetaaga ku mbaga enkulu;” oba nti abeeko ky'agabira abaavu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yali atereka ensimbi, Yesu amugambye agende agule bye beetaaga ku mbaga, oba nti abeeko by’agabira abaavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamu baalowooza nti kubanga Yuda ye yali akwata ensawo, Yesu kyeyava amugamba nti gula bye twetaaga eby'oku mbaga; oba awe abaavu ekintu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yali atereka ensawo, Yesu amugambye nti: “Genda ogule bye twetaaga ku Mbaga”, oba nti: “Baako ky'ogabira abaavu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abalala baateerera nti kubanga Yuda ye yali akwata ensawo, Yesu kyeyava amugamba nti Gula bye twetaaga eby'oku mbaga; oba awe abaavu ekintu.