John 13:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwana bwange, nkyali nammwe akabanga katono. Mulinnoonya, naye nga bwe nagamba Abayudaaya nti: ‘Nze gye ŋŋenda temuyinza kutuukayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Baana bange, akaseera katono ke nkyali nammwe. Mulinnoonya era nga bwe nagamba Abayudaaya nti, ‘Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baana bange, ekiseera kitono nga nkyali nammwe. Mulinnoonya: era nga bwe nnagamba Abayudaaya nti Gye ŋŋenda nze mmwe temuyinza kujja, era nammwe bwe mbagamba kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baana bange, akaseera katono ke nkyali awamu nammwe. Mulinnoonya, naye nga bwe nagamba Abayudaaya nti: ‘Nze gye ŋŋenda, mmwe temuyinza kujjayo,’ era nammwe bwe mbagamba kaakano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baana bange, ekiseera kitono nga nkyali nammwe. Mulinnoonya: era nga bwe nnagamba Abayudaaya nti Gye ŋŋenda nze mmwe temuyinza kujja, era nammwe bwe mbagamba kaakano.