John 13:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'addamu nti: “Onoowaayo obulamu bwo okubeera nze? Nkugambira ddala mazima nti olwa leero enkoko eneeba tennakookolima, onooba onneegaanye emirundi esatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amuddamu nti, “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti, Enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'addamu nti, “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti Enkoko teekookolime okutuusa lw'onoonneegaana emirundi esatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'addamu nti: “Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Mazima ddala nkugamba nti enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'addamu nti Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti Enkoko teekookolime okutuusa lw'ononneegaana emirundi esatu.