John 13:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'addamu nti: “Kye nkola kaakano ggwe tokitegeera; olikitegeera oluvannyuma.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amuddamu nti, “Ensonga enkozesa kino togimanyi kaakano, wabula ekiseera kirituuka n’ogitegeera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'addamu n'amugamba nti, “Kye nkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvannyuma.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amuddamu nti: “Kye nkola, ggwe kaakano tokitegeera, naye olikitegeera oluvannyuma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'addamu n'amugamba nti Kye nkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvannyuma.