John 14:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temukkiriza nga ndi mu Taata ne Taata ng'ali mu nze? Ebigambo nze bye njogera sibyogera ku bwange. Taata ali mu nze yennyini y'akola ebikolwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tokkiriza nga Nze ndi mu Kitange era ne Kitange ali mu Nze? Ebigambo bye mbategeeza si byange ku bwange, wabula biva eri Kitange abeera mu Nze, era akola emirimu ng’ayita mu Nze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tokkiriza nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange ali mu nze? Ebigambo bye mbagamba nze, sibyogera ku bwange nzekka; naye Kitange bw'abeera mu nze akola emirimu gye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tokkiriza nga nze ndi mu Kitange, era nga Kitange ali mu nze? Ebigambo bye mbagamba mmwe, sibyogera ku bwange. Kitange ali mu nze, ye akola yennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tokkiriza nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange ali mu nze? Ebigambo bye mbagamba nze, sibyogera ku bwange nzekka; naye Kitange bw'abeera mu nze akola emirimu gye.