John 14:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amuddamu nti: “Oba oli anjagala, alikwata ekigambo kyange, ne Kitange alimwagala; tulijja gy'ali ne tukuba ekisulo kyaffe mu ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amuddamu nti, “Omuntu yenna anjagala anaagonderanga ekigambo kyange, ne Kitange anaamwagalanga, era Nze ne Kitange tunajjanga ne tubeera mu ye era tunaatuulanga mu ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amuddamu n'amugamba nti, “Omuntu bw'anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange: ne Kitange anaamwagalanga, era tunajjanga gy'ali, tunaatuulanga gy'ali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amuddamu nti: “Buli anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange, era anaayagalibwanga Kitange. Tulijja gy'ali ne tubeera mu ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'addamu n'amugamba nti Omuntu bw'anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange: ne Kitange anaamwagalanga, era tunajjanga gy'ali, tunaatuulanga gy'ali.