John 14:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mbalekedde emirembe, mbawadde emirembe gyange; sigibawadde ng'ensi bw'egiwa. Emitima gyammwe gireke kweraliikirira na kutya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbalekera emirembe, era mbawa emirembe gyange. Emirembe gye mbawa tegiringa egy’ensi. Noolwekyo temutyanga era temweraliikiriranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa: si ng'ensi bw'ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweraliikiriranga so tegutyanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mbalekera emirembe. Mbawa emirembe gyange. Sigibawadde ng'ensi bw'ewa. Temweraliikiriranga era temutyanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa: si ng'ensi bw'ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweraliikiriranga so tegutyanga.