John 14:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muwulidde nga bwe mbagambye nti: ‘Ŋŋenda ate ndikomawo gye muli.’ Singa mubadde munjagala, mwandisanyuse, kubanga ŋŋenda ewa Taata; anti Taata mukulu okunsinga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mujjukire kye n’abagamba nti ŋŋenda era ndikomawo gye muli. Singa ddala mubadde munjagala mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange y’ansinga ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwulidde bwe mbagambye nti ŋŋenda, era nkomawo gye muli. Singa munjagala, mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange: kubanga Kitange ansinga obukulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwulidde bwe mbagambye nti ŋŋenda, era ndikomawo gye muli. Singa munjagala, mwandisanyuse nga ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange ansinga ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwulidde bwe mbagambye nti ŋŋenda, era nkomawo gye muli. Singa munjagala, mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange: kubanga Kitange ansinga obukulu.