John 14:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ensi etegeere nga njagala Taata, era nga nkola nga bwe yandagira. Musituke, mugire tuve wano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka ensi eryoke emanye nti njagala Kitange, nzija kukola Kitange ky’andagidde. “Musituke tuve wano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye ensi etegeerenga njagala Kitange, era Kitange bwe yandagira, bwe ntyo bwe nkola. Mugolokoke, tuve wano.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nkola nga Kitange bwe yandagira, ensi eryoke emanye nti Kitange mmwagala. “Musituke, tuve wano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ensi etegeere nga njagala Kitange, era Kitange bwe yandagira, bwe ntyo bwe nkola. Mugolokoke, tuve wano.