John 14:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amugamba nti: “Filippo, mbadde nammwe ebbanga lino lyonna era temunnammanya? Anti alaba nze ng'alabye Taata; obadde otya okuŋŋamba nti: ‘Tulage ku Taata?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amugamba nti, “Firipo, kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna era tontegeeranga? Buli alaba Nze aba alabye Kitange! Kale lwaki ate oyogera nti, ‘Tulage Kitaffe?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amugamba nti, “Kasookedde mbeera nammwe, ebiro ebingi bwe bityo, era tontegeeranga, Firipo? Alabye ku nze, ng'alabye ku Kitange; kiki ekikwogeza ggwe nti tulage Kitaffe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amuddamu nti: “Kasookedde mbeera nammwe ebbanga lino lyonna, tontegeeranga, Filipo? Alabye ku nze, ng'alabye ku Kitange. Ate lwaki ogamba nti: ‘Tulage ku Kitaawo’?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'amugamba nti Kasookedde mbeera nammwe, ebiro ebingi bwe bityo, era tontegeeranga, Firipo? Alabye ku nze, ng'alabye ku Kitange; kiki ekikwogeza ggwe nti Tulage Kitaffe?