John 15:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si mmwe mwalonda nze, wabula nze nalonda mmwe, ne mbateekawo mugende mubale ebibala, ebibala byammwe bibeerere, na buli kyonna kye muliba musabye Taata mu linnya lyange, akibawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Si mmwe mwannonda! Wabula Nze nabalonda, mulyoke mubale ebibala ate ebibala eby’olubeerera. Olwo buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange anaakibawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Si mmwe mwannonda nze, naye nze nnabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, n'ebibala byammwe bibeerengawo: kyonna kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, anaakibawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Si mmwe mwannonda nze, wabula nze nabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, era ebibala byammwe biremenga kuggwaawo. Era buli kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, anaakibawanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Si mmwe mwannonda nze, naye nze nnabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, n'ebibala byammwe bibeerengawo: kyonna kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, akibawenga.