John 15:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mujjukire ekigambo kye nabagamba nti: ‘Omuweereza takira mukama we.’ Obanga nze banjigganya, nammwe balibayigganya; obanga baakwata ekigambo kyange, n'ekyammwe balikikwata.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mujjukire kye nabagamba nti, ‘Omuddu tasinga mukama we.’ Kale obanga Nze banjigganya era nammwe bagenda kubayigganyanga. Era obanga baagondera ebigambo byange n’ebyammwe balibigondera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mujjukire ekigambo kye nnabagamba nti Omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjiggannya nze, nammwe banaabayigganyanga; oba nga baakwata ekigambo kyange, n'ekyammwe banaakikwatanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mujjukire ekigambo kye nabagamba nti omuddu tasinga mukama we. Oba nga nze banjigganya, nammwe banaabayigganyanga. Oba nga baakwata ebigambo byange, n'ebyammwe banaabikwatanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mujjukire ekigambo kye nnabagamba nti Omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjigganya nze, nammwe banaabayigganyanga; oba nga baakwata ekigambo kyange, n'ekyammwe banaakikwatanga.