John 15:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa sajja ne mbagamba, tebandibadde na kibi. Naye kati tebalina we bawampanyiza kibi kyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa sajja ne njogera nabo tebandibadde na musango. Naye kaakano tebalina kya kwewolereza olw’ekibi kyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Singa sajja ne njogera nabo, tebandibadde na kibi; naye kaakano tebalina kya kuwoza olw'ekibi kyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Singa sajja ne njogera nabo, tebandibadde na kibi. Naye kaakano tewali kibaggyako musango gwa kibi kyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Singa sajja ne njogera nabo, tebandibadde na kibi; naye kaakano tebalina kya kuwoza olw'ekibi kyabwe.