John 15:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omuwolereza bw'alijja, oyo gwe ndibatumira okuva ewa Taata, ye Mwoyo ow'amazima, asibuka mu Taata, oyo alinjulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kyokka mmwe ndibatumira Omubeezi okuva eri Kitange, Omwoyo ow’amazima ava eri Kitange era alibategeeza buli ekinfaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Omubeezi bw'alijja, gwe ndibatumira ava eri Kitange, Omwoyo ow'amazima, ava eri Kitange, oyo alitegeeza ebyange:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe ndigenda eri Kitange, ndibatumira mmwe Omubeezi, ye Mwoyo amanyisa abantu amazima, ava mu Kitange. Ye bw'alijja, aliba mujulirwa wange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Omubeezi bw'alijja, gwe ndibatumira ava eri Kitange, Omwoyo ow'amazima, ava eri Kitange, oyo alitegeeza ebyange: