John 15:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mubeere mu nze nange mbeere mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo, wabula nga liri ku muzabbibu, nammwe bwe mutayinza, wabula nga muli ku nze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mubeere mu Nze era nange mbeere mu mmwe. Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe mutyo nammwe temuyinza kubala bibala bwe mutabeera mu Nze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera ku muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mubeere mu nze nange mbeere mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe kityo nammwe, temuyinza kubala bibala, bwe mutabeera mu nze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera mu muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze.