John 15:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli atabeera mu nze, akanyugibwa ebweru ng'ettabi n'akala; amatabi ago gakuŋŋaanyizibwa ne gasuulibwa mu muliro, ne gookebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu bw’atabeera mu nze asuulibwa ebweru ng’ettabi erikaze. Amatabi ng’ago bagakuŋŋaanya ne bagasuula ku muliro ne gaggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu bw'atabeera mu nze, asuulibwa ebweru ng'ettabi, akala; bagakuŋŋaanya, bagasuula mu muliro, ne gaggya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Atabeera mu nze, asuulibwa ebweru ng'ettabi, era akala. Amatabi ng'ago, bagakuŋŋaanya ne bagasuula mu muliro, ne gookebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'atabeera mu nze, asuulibwa ebweru ng'ettabi, akala; bagakuŋŋaanya, bagasuula mu muliro, ne gaggya.