John 16:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo abamu ku bayigirizwa be ne bagambagana nti: “Atugamba ki ekyo nti: ‘Mu kabanga katono munaaba temukyandaba, ate mu kabanga katono muliddamu ne mundaba,’ ate nti: ‘Ŋŋenda ewa Taata’?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu ku bayigirizwa be ne beebuzaganya nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Mu bbanga ttono temuliddayo kundaba, ate mu bbanga ttono munandaba,’ era nti, ‘Kubanga ŋŋenda eri Kitange?’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abayigirizwa be abamu kyebaava boogera bokka na bokka nti, “Kiki kino ky'atugamba nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba; nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba; era nti Kubanga ŋŋenda eri Kitange?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamu ku bayigirizwa be ne bagambagana nti: “Kiki ekyo ky'atugamba nti: ‘Mu bbanga ttono munaaba nga temukyandaba, ate wanaayita ebbanga ttono ne mundaba,’ era nti: ‘Ŋŋenda eri Kitange?’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abayigirizwa be abamu kyebaava boogera bokka na bokka nti Kiki kino ky'atugamba nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba; nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba; era nti Kubanga ŋŋenda eri Kitange?