John 16:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amanya nga baagala okumubuuza; n'abagamba nti: “Ekyo kye mwebuuzaganya kubanga ŋŋambye nti: ‘Mu kabanga katono munaaba temukyandaba, ate mu kabanga katono muliddamu ne mundaba’?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yamanya nga baagala okumubuuza n’abagamba nti, “Mwebuuzaganya ku kye ŋŋambye nti mu bbanga ttono munaaba temukyandaba ate wanaayitawo ebbanga ttono ne mundaba?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'ategeera nga baagala okumubuuza, n'abagamba nti, “Mwebuuzaganya mwekka olw'ekyo kye mbagambye nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba, era nate walibaawo ekiseera kitono ne mundaba?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amanya nga baagala okumubuuza, n'abagamba nti: “Kino kye mwebuuzaganyaako, kye ŋŋambye nti mu bbanga ttono munaaba temukyandaba, ate wanaayita ebbanga ttono ne mundaba?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'ategeera nga baagala okumubuuza, n'abagamba nti Mwebuuzaganya mwekka olw'ekyo kye mbagambye nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba, era nate walibaawo ekiseera kitono ne mundaba?