John 16:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mbagambira ddala mazima nti mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, ensi yo ng'esanyuka; mulikabirirwa, naye okukabirirwa kwammwe kulifuuka essanyu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, naye ensi yo erisanyuka. Mmwe mulinakuwala naye okunakuwala kwammwe kulifuuka essanyu eritagambika bwe mulindabako nate.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka: mmwe mulinakuwala, naye ennaku yammwe erifuuka ssanyu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mazima ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka. Mmwe mulinakuwala, naye okunakuwala kwammwe kulifuuka essanyu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka: mmwe mulinakuwala, naye ennaku zammwe zirifuuka ssanyu.