John 16:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi ng'azaala alumwa, kubanga entuuko ze zituuse; naye bw'amala okuzaala omwana, nga takyajjukira bulumi olw'essanyu, kubanga omuntu azaaliddwa ku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukazi ng’azaala aba mu bulumi buyitirivu, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bw’amala okuzaalibwa olwo omukazi aba takyajjukira bulumi buli olw’essanyu ery’okuzaala omuntu mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukazi bw'azaala alaba ennaku, kubanga ekiseera kye kituuse: naye omwana bw'amala okuzaalibwa nga takyajjukira kulumwa, olw'essanyu ery'okuzaala omuntu mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omukazi ng'azaala, aba mu bulumi bungi, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bw'amala okuzaalibwa, omukazi nga takyajjukira bulumi olw'essanyu ery'okuzaala omuntu ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi bw'azaala alaba ennaku, kubanga ekiseera kye kituuse: naye omwana bw'amala okuzaalibwa nga takyajjukira kulumwa, olw'essanyu ery'okuzaala omuntu mu nsi.