John 16:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nammwe nno kaakano mukabiriddwa, naye ndibalaba ogwokubiri, olwo emitima gyammwe girisanyuka, n'essanyu lyammwe tewaliba alibaggyako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndiddamu okubalaba ne musanyuka, era essanyu lyammwe tewali n’omu aliribaggyako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nammwe kaakano munakuwala: naye ndibalaba nate, n'emitima gyammwe girisanyuka, n'essanyu lyammwe tewali muntu aliribaggyako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nammwe kaakano munakuwadde, naye ndibalaba, nate emitima gyammwe ne gisanyuka, era essanyu lyammwe tewaliba alibaggyako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nammwe kaakano munakuwala: naye ndibalaba nate, n'emitima gyammw'e girisanyuka, n'essanyu lyammwe tewali muntu alibaggyako.