John 16:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olwo temulimbuuza kantu. Mbagambira ddala mazima nti bwe munaabangako kye musaba Taata, alikibawa mu linnya lyange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo nga temukyansaba kintu na kimu, mmwe bennyini munaasabanga Kitange mu linnya lyange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Ddala ddala mbagamba nti Buli kye mulisaba Kitange, alikibawa mu linnya lyange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Mazima ddala mbagamba nti Kitange alibawa buli kye mulisaba mu linnya lyange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Ddala ddala mbagamba nti Buli kye mulisaba Kitange, alikibawa mu linnya lyange.