John 16:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kaakano tutegedde ng'omanyi byonna; teweetaaga muntu akubuuze. Olwa kino kyetuva tukkiriza nga wava wa Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano tutegedde ng’omanyi byonna, era nga tewali kyetaagisa kukubuuza. Kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano tumanyi ng'omanyi byonna, so teweetaaga muntu yenna okukubuuza; kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano tumanyi ng'omanyi byonna, era nga tekyetaagisa muntu n'omu kukubuuza kibuuzo. Kyetuva tukkiriza nga wava wa Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kaakano tumanyi ng'omanyi byonna, so teweetaaga muntu yenna okukubuuza; kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.