John 16:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyo mbibagambye kati akadde kaabyo bwe kalituuka, mujjukire nga nabibagamba. “Bino saabibagambirawo olubereberye kubanga nali nkyali nammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale bino mbibabuulidde nga tebinnabaawo, ekiseera bwe kirituuka ne bibaawo mulyoke mujjukire nti nabagamba. Ebyo saabibategeerezaawo ku lubereberye kubanga nnali nkyali nammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebyo mbibabuulidde, era ekiseera kyabyo bwe kituukanga mujjukire nga nze nnababuulira. N'ebyo okuva ku lubereberye saabibabuulira, kubanga nnali wamu nammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ebyo mbibabuulidde, ekiseera kyabyo bwe kirituuka, mulyoke mujjukire nga nze nabibabuulira. “Mu kusooka, ebyo saabibabuulira, kubanga nali nkyali wamu nammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebyo mbibabuulidde, era ekiseera kyabyo bwe kituukanga mujjukire nga nze nnababuulira. N'ebyo okuva ku lubereberye saabibabuulira, kubanga nnali wamu nammwe.