John 16:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka nze mbabuulira amazima nti kibagasa nze okugenda; kubanga bwe sigenda, Omuwolereza talijja gye muli; naye bwe ŋŋenda, ndimubatumira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mbategeereza ddala nti ekisinga obulungi gye muli Nze kwe kugenda. Kubanga bwe sigenda Omubeezi tagenda kujja, kyokka bwe ŋŋenda, ndimutuma gye muli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze mbagamba amazima; kibasaanira mmwe nze okugenda; kubanga nze bwe sirigenda, Omubeezi talibajjira; naye bwe ndigenda ndimutuma gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mbategeeza amazima nti kibagasa nze okugenda, kubanga bwe sigenda, Omubeezi talijja gye muli. Kyokka bwe ŋŋenda, ndimubatumira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze mbagamba amazima; kibasaanira mmwe nze okugenda; kubanga nze bwe sirigenda, Omubeezi talibajjira; naye bwe ndigenda ndimutuma gye muli.