John 17:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nali nga nkyali nabo, nabakuumira mu linnya lyo lye wali ompadde; nabakuuma, era ku bo tewali yabula, wabula omwana w'okuzikirira, Ebiwandiiko biryoke bituukirire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe mbadde nabo, abo be wampa mbakuumye mu linnya lyo, ne watabaawo azikirira, okuggyako omwana ow’okubula, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe nnali nabo be wampa nnabakuumanga mu linnya lyo; era ne mbazibira, tekubulanga muntu ku bo, wabula omwana w'okubula; ebyawandiikibwa bituukirire.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bwe nali nabo, nabakuuma mu buyinza bwo bwe wampa, ne kutabula n'omu ku bo, wabula oyo eyali ateekwa okubula, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe nnali nabo be wampa nnabakuumanga mu linnya lyo: era ne mbazibira, tekubulanga muntu ku bo, wabula omwana w'okubula; ebyawandiikibwa bituukirire.