John 17:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kaakano nzija gy'oli; bino mbyogedde kati mu nsi, essanyu lyange lituukirire mu bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nange kaakano nzija gy’oli, era mbabuulidde ebintu bino nabo babe n’essanyu lyange nga lituukiridde mu bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano njija gy'oli; na bino mbyogera mu nsi babe n'essanyu lyange nga lituukiridde mu bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano nzija gy'oli, era ebyo mbyogerera mu nsi, essanyu lyange liryoke libajjule.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaakano njija gy'oli; na bino mbyogera mu nsi babe n'essanyu lyange nga lituukiridde mu bo.