John 17:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Taata, njagala abo be wampa nabo babe nange awo we ndi, balabe ekitiibwa kyange kye wampa, kubanga wanjagala nga n'ensi tennabangibwawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kitange, bano be wampa njagala mbeere nabo we ndi balyoke bategeere ekitiibwa kyange kye wampa kubanga wanjagala, ng’ensi tennatondebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeeranga nange; balabe ekitiibwa kyange kye wampa: kubanga wanjagala nze ng'ensi tennatondebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kitange, be wampa, njagala we ndi, nabo we baba babeeranga, balabe ekitiibwa kyange kye wampa. Wanjagala ng'ensi tennatondebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeeranga nange; balabe ekitiibwa kyange kye wampa: kubanga wanjagala nze ng'ensi tennatondebwa.