John 17:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabamanyisa erinnya lyo, era nzija kwongera okulimanyisa, okwagala kwe wanjagalamu kulyoke kubabeeremu, nange mbeere mu bo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mbayigirizza ne bamanya erinnya lyo, era nzija kwongera okubamanyisa okwagala kwo kw’onjagala, kulyoke kubeerenga mu bo, era nange mbeere mu bo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era nnabategeeza erinnya lyo era nditegeeza; okwagala kwe wanjagala kubeerenga mu bo, nange mu bo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nabamanyisa erinnya lyo, era nja kwongera okulimanyisa, okwagala kwe wanjagala, kubeere mu bo, nange mbeere mu bo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nnabategeeza erinnya lyo era nditegeeza; okwagala kwe wanjagala kubeerenga mu bo, nange mu bo.