John 18:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Simoni Petero yalina ekitala; n'akisowola, n'atema omuddu w'akabona omukulu, n'amusalako okutu okwa ddyo, erinnya ly'omuddu nga ye Maluko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Simooni Peetero, eyalina ekitala, n’akisowolayo, n’atema omuddu wa Kabona Asinga Obukulu n’amusalako okutu okwa ddyo. Erinnya ly’omuddu oyo nga ye Maluko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Simooni Peetero eyalina ekitala n'akisowola n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu okwa ddyo. N'erinnya ly'omuddu Maluko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Simooni Peetero yalina ekitala. N'akisowolayo, n'atema omuddu wa Ssaabakabona, n'amukutulako okutu okwa ddyo. Erinnya ly'omuddu oyo nga ye Maluko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Simooni Peetero eyalina ekitala n'akisowola n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu okwa ddyo. N'erinnya ly'omuddu Maluko.