John 18:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amuddamu nti: “Nayogera mu lwatu eri ensi; bulijjo nayigirizanga mu sinaagooga ne mu Kiggwa Abayudaaya bonna gye bakuŋŋaanira; soogeranga kantu mu kyama;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amuddamu nti, “Nayogeranga lwatu eri ensi, bulijjo n’ayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu Yeekaalu, Abayudaaya bonna mwe bakuŋŋaanira, soogeranga kintu na kimu mu kyama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amuddamu nti, “Nze nnabuuliranga lwatu ensi; bulijjo nnayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu Yeekaalu, mwe bakuŋŋaanira Abayudaaya bonna; soogeranga mu kyama kigambo na kimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amuddamu nti: “Nze nayogeranga lwatu mu bantu, bulijjo nayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu Ssinzizo, Abayudaaya bonna mwe bakuŋŋaanira. Soogeranga kintu na kimu mu kyama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'amuddamu nti nnabuuliranga lwatu ensi; bulijjo nnayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu yeekaalu, mwe bakuŋŋaanira Abayudaaya bonna; soogeranga mu kyama kigambo na kimu.