John 18:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omu ku baweereza ba kabona omukulu, ow'oluganda n'oli Petero gwe yasalako okutu, n'amugamba nti: “Saakulabye mu nnimiro ng'oli naye?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omu ku baddu ba Kabona Asinga Obukulu, muganda w’oyo Peetero gwe yasalako okutu, n’amubuuza nti, “Saakulabye naye mu nnimiro?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omu ku baddu bakabona asinga obukulu ow'ekika ky'oyo Peetero gwe yasalako okutu, n'agamba nti, “Nze saakulabye naye mu lusuku muli?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu ku baddu ba ssaabakabona, era muganda w'oyo, Peetero gwe yakutulako okutu, n'agamba nti: “Nze saakulabye naye mu nnimiro?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omu ku baddu ba kabona asinga obukulu ow'ekika ky'oyo Peetero gwe yasalako okutu, n'agamba nti Nze saakulabye naye mu lusuku muli?