John 18:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne baggya Yezu ewa Kayafa ne bamutwala mu Purayitoriyo. Obudde bwali bwakakya. Bo bennyini tebaayingira mu Purayitoriyo, baleme kusoba, basobole okulya Pasika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abayudaaya ne baggya Yesu ewa Kayaafa ne bamutwala mu lubiri lwa gavana Omuruumi. Obudde bwali bwakakya, ne batayingira mu lubiri baleme okusobya omukolo ogw’okwetukuza, si kulwa nga basubwa okulya Embaga y’Okuyitako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne baggya Yesu eri Kayaafa, ne bamutwala mu kigango: era bwali bukya; bo bennyini ne batayingira mu kigango, baleme okweyonoona, naye bamale okulya Okuyitako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yesu ne bamuggya ewa Kayaafa, ne bamutwala mu lubiri lw'omufuzi Omurooma. Obudde bwali bwakakya. Abayudaaya ne batayingira mu lubiri, baleme kusobya mukolo gwa kwetukuza, naye basobole okulya Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baggya Yesu eri Kayaafa, ne bamutwala mu kigango: era bwali bukya; bo bennyini ne batayingira mu kigango, baleme okweyonoona, naye bamale okulya Okuyitako.