John 18:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pilato n'afuluma n'agenda gye bali, n'abagamba nti: “Nsonga ki gye muleeta okuvunaana omuntu ono?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Piraato n’afuluma ebweru gye baali n’ababuuza nti, “Musango ki gwe muvunaana omuntu ono?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Piraato n'afuluma n'agenda gye baali, n'agamba nti, “Musango ki gwe mulanze omuntu ono?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Pilaato n'afuluma n'agenda gye bali, n'ababuuza nti: “Musango ki gwe muwawaabira omuntu ono?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Piraato n'afuluma n'agenda gye baali, n'agamba nti Musango ki gwe mulanze omuntu ono?