John 18:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yuda n'afuna ekibinja ky'abaserikale n'abaweereza okuva ewa bakabona abakulu n'Abafarisaayo, n'ajja eyo n'ettawaaza n'emimuli n'ebyokulwanyisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yuda n’ajja mu kifo ekyo ng’ali n’ekibinja ky’abaserikale, n’abaweereza ba Bakabona abakulu n’ab’Abafalisaayo. Bajja nga balina ettaala n’emimuli n’ebyokulwanyisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yuda, bwe yamala okuweebwa ekitongole ky'abaserikale n'abaami okuva eri bakabona abakulu n'Abafalisaayo, n'ajja mu lusuku ng'alina ettabaaza, n'emimuli, n'amafumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yuda n'ajja mu nnimiro ng'ali n'ekibinja ky'abaserikale, n'abakuumi b'Essinzizo, abaatumibwa bakabona abakulu n'Abafarisaayo. Baalina ettaala n'emimuli, n'ebyokulwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yuda, bwe yamala okuweebwa ekitongole ky'abaserikale n'abaami okuva eri bakabona abakulu n'Abafalisaayo, n'ajjayo ng'alina ettabaaza, n'emimuli, n'amafumu.