John 18:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pilato n'abagamba nti: “Mmwe mumutwale, mumulamule nga mugoberera amateeka gammwe.” Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Ffe tetukkirizibwa kutta muntu n'omu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Piraato kyeyava abagamba nti, “Kale mmwe mumutwale mumusalire omusango okusinziira mu mateeka gammwe.” Ne bamuddamu nti, “Ffe tetukkiriza kutta muntu yenna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Piraato n'abagamba nti, “Kale mumutwale mmwe mumusalire omusango ng'amateeka gammwe bwe gali.” Abayudaaya ne bamugamba nti, “Tekyatulagirwa kutta muntu yenna;”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pilaato n'abagamba nti: “Kale nno mmwe mumutwale, mumusalire omusango ng'amateeka gammwe bwe gali.” Abayudaaya ne bamugamba nti: “Ffe tetukkirizibwa kutta muntu n'omu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Piraato n'abagamba nti Kale mumutwale mmwe mumusalire omusango ng'amateeka gammwe bwe gali. Abayudaaya ne bamugamba nti Tekyatulagirwa kutta muntu yenna;