John 18:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'addamu nti: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi eno. Singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi eno, abaweereza bange tebandiremye kulwana, nneme kuweebwayo mu Bayudaaya. Naye nno obwakabaka bwange si bwa mu nsi eno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’addamu nti, “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno. Singa bubadde bwa mu nsi eno abaweereza bange bandirwanye ne siweebwayo mu Bayudaaya. Naye obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'addamu nti, “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno: singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, basajja bange bandirwanye, ne ssiweebwayo mu Bayudaaya: naye kaakano obwakabaka bwange si bwa wano.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'addamu nti: “Obwakabaka bwange si bwa ku nsi kuno. Singa obwakabaka bwange bubadde bwa ku nsi kuno, abantu bange bandirwanye, ne siweebwayo mu Bayudaaya. Naye obwakabaka bwange si bwa ku nsi kuno.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'addamu nti Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno: singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, basajja bange bandirwanye, ne ssiweebwayo mu Bayudaaya: naye kaakano obwakabaka bwange si bwa wano.