John 18:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pilato n'amugamba nti: “Awo nno oli kabaka?” Yezu n'addamu nti: “Oyogedde nti ndi kabaka. Nze kino kye nazaalirwa, era kino kye kyandeeta mu nsi, okujulira amazima; buli w'amazima, awulira eddoboozi lyange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Piraato n’amubuuza nti, “Kwe kugamba oli kabaka?” Yesu n’amuddamu nti, “Okyogedde nti ndi kabaka. Ekyo kye nnazaalirwa era kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Era abo bonna abaagala amazima bawulira eddoboozi lyange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Piraato n'amugamba nti, “Kale ggwe kabaka?” Yesu n'addamu nti, “Oyogedde, kubanga nze kabaka. Nze nnazaalirwa ekyo, n'ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Buli ow'amazima awulira eddoboozi lyange.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Pilaato n'amubuuza nti: “Kwe kugamba oli Kabaka?” Yesu n'addamu nti: “Nga bw'oyogedde. Ndi kabaka. Nze nazaalibwa ne nzija ku nsi, nga nzijiridde kino: okumanyisa amazima. Buli ayagala amazima, awulira eddoboozi lyange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Piraato n'amugamba nti Kale ggwe kabaka? Yesu n'addamu nti Oyogedde, kubanga nze kabaka. Nze nnazaalirwa ekyo, n'ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Buli ow'amazima awulira eddoboozi lyange.