John 18:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pilato n'amugamba nti: “Amazima kye ki?” Bwe yamala okwogera ekyo, n'afuluma n'agenda eri Abayudaaya nate, n'abagamba nti: “Ono simulabamu nsonga n'emu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Piraato n’amubuuza nti, “Amazima kye ki?” Piraato bwe yamala okwogera bw’atyo n’afuluma ebweru eri Abayudaaya n’abagamba nti, “Omuntu ono talina musango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Piraato n'amugamba nti, “Amazima kye ki?” Piraato bwe yamala okwogera ebyo, n'afuluma nate n'agenda awali Abayudaaya, n'abagamba nti, “Siraba musango ku ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pilaato n'amugamba nti: “Amazima kye ki?” Pilaato bwe yamala okwogera ebyo, n'afuluma nate, n'agenda awali Abayudaaya, n'abagamba nti: “Siraba musango ku ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Piraato n'amugamba nti Amazima kye ki? Bwe yamala okwogera ekyo, n'afuluma nate n'agenda awali Abayudaaya, n'abagamba nti Siraba musango ku ye.