John 18:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamuddamu nti: “Yezu ow'e Nazareti.” Yezu n'abagamba nti: “Ye nze.” Ne Yuda eyamulyamu olukwe yali ayimiridde nabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baddamu nti, “Tunoonya Yesu Omunnazaaleesi.” Yesu n’abaddamu nti, “Ye Nze,” Yuda, eyamulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamuddamu nti, “Yesu Omunazaaleesi.” Yesu n'abagamba nti, “Nze nzuuno.” Era ne Yuda, amulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuddamu nti: “Yesu Omunazaareeti.” Yesu n'abagamba nti: “Ye Nze.” Yuda eyamulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamuddamu nti Yesu Omunazaaleesi. Yesu n'abagamba nti Nze nzuuno. Era ne Yuda, amulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo.