John 18:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'abagamba nti: “Ye nze,” ne badda ekyennyumannyuma, ne bagwa ku ttaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu bwe yabagamba nti, “Ye Nze” ne badda emabega ne bagwa wansi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yabagamba nti, “Nze nzuuno,” ne badda emabega ne bagwa wansi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu bwe yabagamba nti: “Ye Nze”, ne badda emabega ne bagwa wansi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yabagamba nti Nze nzuuno, ne badda ennyuma ne bagwa wansi.