John 19:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yezu n'amuddamu nti: “Tewandibadde na buyinza ku nze singa tebwakuweebwa kuva waggulu; olw'ekyo nno ampadde gy'oli y'alina omusango ogusinga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesu n’amuddamu nti, “Tewandibadde na buyinza ku Nze n’akatono, singa tebukuweebwa kuva waggulu. Noolwekyo abo abampaddeyo gy’oli be balina ekibi ekisinga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yesu n'amuddamu nti, “Tewandibadde na buyinza bwonna ku nze, singa tebwakuweebwa okuva waggulu; ampaddeyo gy'oli kyavudde abeera n'ekibi ekisinga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yesu n'amuddamu nti: “Tewandibadde na buyinza ku nze n'akatono, singa tebwakuweebwa Katonda. N'olwekyo ampaddeyo gy'oli ye alina ekibi ekisinga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yesu n'amuddamu nti Tewandibadde na buyinza bwonna ku nze, singa tebwakuweebwa okuva waggulu; ampaddeyo gy'oli kyavudde abeera n'ekibi ekisinga.