John 19:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva olwo Pilato n'ateganira ddala okumuta, naye Abayudaaya ne baleekaana nti: “Oyo bw'omuta nga tokyali mukwano gwa Kayisari; buli eyeeyita kabaka, aba ajeemedde Kayisari.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva mu kiseera ekyo Piraato n’asala amagezi okuta Yesu. Naye Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, “Bw’ota omuntu oyo nga tokyali mukwano gwa Kayisaali. Buli eyeefuula kabaka aba awakanya Kayisaali.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okusookera awo Piraato n'asala amagezi okumuta: naye Abayudaaya ne boogerera waggulu nga bagamba nti, “Bw'onoomuta oyo nga toli mukwano gwa Kayisaali: buli muntu yenna eyeefuula kabaka awakanya Kayisaali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva mu kaseera ako Pilaato n'asala amagezi okuta Yesu. Naye Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti: “Oyo bw'omuta, nga toli mukwano gwa Kayisaari. Buli muntu eyeefuula kabaka, awakanya Kayisaari.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okusookera awo Piraato n'asala amagezi okumuta: naye Abayudaaya ne boogerera waggulu nga bagamba nti Bw'onoomuta oyo nga toli mukwano gwa Kayisaali: buli muntu yenna eyeefuula kabaka awakanya Kayisaali.