John 19:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne baleekaana nti: “Ggyawo, ggyawo, mukomerere ku musaalaba.” Pilato n'abagamba nti: “Kabaka wammwe gwe mba nkomerera ku musaalaba?” Bakabona abakulu ne baddamu nti: “Tetulina kabaka mulala wabula Kayisari.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, “Mukomerere, mukomerere!” Piraato n’ababuuza nti, “Kabaka wammwe gwe mba nkomerera?” Bakabona abakulu ne baddamu nti, “Tetulina kabaka mulala, wabula Kayisaali.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bo ne boogerera waggulu nti, “Muggyeewo, muggyeewo mukomerere.” Piraato n'abagamba nti, “Nnaakomerera Kabaka wammwe?” Bakabona abakulu ne baddamu nti, “Tetulina kabaka wabula Kayisaali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bo ne baleekaana nti: “Muggyeewo, muggyeewo, mukomerere ku musaalaba!” Pilaato n'ababuuza nti: “Kabaka wammwe gwe mba nkomerera ku musaalaba?” Bakabona abakulu ne baddamu nti: “Tetulina kabaka mulala, wabula Kayisaari.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bo ne boogerera waggulu nti Muggyeewo, muggyeewo mukomerere. Piraato n'abagamba nti Nnaakomerera Kabaka wammwe? Bakabona abakulu ne baddamu nti Tetulina kabaka wabula Kayisaali.