John 19:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'avaayo nga yeetisse omusaalaba gwe, n'alaga ku kifo ky'Akawanga, mu Lwebureeyi ekiyitibwa Golugota.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’afuluma nga yeetisse omusaalaba gwe, n’atuuka mu kifo ekiyitibwa eky’Ekiwanga, mu Lwebbulaniya kiyitibwa Gologoosa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'afuluma, nga yeetisse yekka omusaalaba gwe, n'atuuka mu kifo ekiyitibwa Ekyekiwanga, ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Gologoosa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'afuluma nga yeetisse omusaalaba gwe, n'atuuka mu kifo ekiyitibwa eky'Ekiwanga, mu Lwebureeyi ekiyitibwa Golugoota.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'afuluma, nga yeetisse yekka omusalaba gwe, n'atuuka mu kifo ekiyitibwa Ekyekiwanga, ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Gologoosa: