John 19:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona abakulu ab'Abayudaaya ne bagamba Pilato nti: “Leka kuwandiika nti: ‘Kabaka w'Abayudaaya’ wabula nti: ‘Eyeeyita nti nze kabaka w'Abayudaaya.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bakabona abakulu ab’Abayudaaya ne bagamba Piraato nti, “Towandiika nti, ‘Kabaka w’Abayudaaya,’ naye nti, ‘Oyo eyeeyita Kabaka w’Abayudaaya.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bakabona abakulu b'Abayudaaya ne bagamba Piraato nti, “Towandiika nti Kabaka w'Abayudaaya; naye nti oyo eyayogera nti Nze Kabaka w'Abayudaaya.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bakabona abakulu ab'Abayudaaya ne bagamba nti: “Towandiika nti: ‘Kabaka w'Abayudaaya,’ naye nti: ‘Oyo yagamba nti: Nze Kabaka w'Abayudaaya.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bakabona abakulu b'Abayudaaya ne bamugamba Piraato nti Towandiika nti Kabaka w'Abayudaaya; naye nti oyo eyayogera nti Nze Kabaka w'Abayudaaya.